1
Yokaana 8:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Yokaana 8:32
era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.
3
Yokaana 8:31
Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala
4
Yokaana 8:36
Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala.
5
Yokaana 8:7
Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.
6
Yokaana 8:34
Yesu n'abaddamu nti Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi.
7
Yokaana 8:10-11
Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga? Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.]
Pekutangira
Bhaibheri
Zvirongwa
Mavideo